2 Chronicles 34:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalagira emyaliiro gya Baali ne bagizikiriza; emyaliiro gy'obubaani gye baali bazimbyeko yagimenyaamenya; empagi za Asera n'ebifaananyi bya balubaale ebibumbe n'ebisaanuuse yabimenyaamenya n'abimansamansa ku malaalo gaabo abaali babitambirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alagira bamenyeemenye ebyoto bya Baali, n’atemaatema ebyoto kwe baayoterezanga obubaane ebyali waggulu waabyo, n’amenyaamenya ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse; n’abisesebbula, enfuufu yaabyo n’agimansula ku malaalo g’abo abaaweerangayo ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamenyamenyera ebyoto bya Baali mu maaso ge, n'ebifaananyi by'enjuba ebyali waggulu ku byo n'abitemaatema, ne bifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'ebifaananyi ebisaanuuse n'abimenyaamenya n'abifuula enfuufu n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamenyaamenya alutaari za Baali, Yosiya ng'alaba, n'obutuuti obwoterezebwako obubaane waggulu waazo n'abutemaatema, n'ebifaananyi bya lubaale Asera ebyole n'ebiweese n'abisekulasekula, n'abifuula enfuufu, n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamenyaamenyera ebyoto bya Babaali mu maaso ge; n'ebifaananyi by'enjuba ebyali waggulu ku byo n'abitemaatema; ne Baasera n'ebifaananyi ebyole n'ebifaananyi ebisaanuuse n'abimenyaamenya n'abifuula enfuufu n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga.