2 Chronicles 34:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yayokya amagumba ga bakabona abaatambiriranga ku myaliiro gyabwe; bw'atyo n'agogola Yuda ne Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayokera amagumba ga bakabona abaakolanga eby’ebivve ebyo ku byoto ebyo, n’atukuza Yuda ne Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ayokera amagumba ga bakabona ku byoto byabwe, n'alongoosa Yuda ne Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'ayokera amagumba g'abakabona baabyo ku alutaari zaabyo n'atukuza Buyudaaya ne Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ayokera amagumba ga bakabona ku byoto byabwe, n'alongoosa Yuda ne Yerusaalemi.