2 Chronicles 34:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
yamenyawo emyaliiro n'empagi za Asera, n'ebifaananyi bya balubaale n'abisekula n'abifuula vvu; emyaliiro gy'obubaani n'agitemaatema wonna mu Yisirayeli, olwo n'adda mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amenyaamenya ebyoto ne Baasera, n’asesebbula n’ebifaananyi ebyole, n’atemaatema ebyoto byonna kwe baayokeranga obubaane mu Isirayiri yonna, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amenyaamenya ebyoto, n'asekulasekula ebifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'abifuula enfuufu, n'atemaatema ebyoto byonna kwe bayooterezanga obubaane, ebyali mu ensi yonna eya Isiraeri, n'akomawo e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amenyaamenya zaalutaari, n'asekulasekula ebifaananyi bya lubaale Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'abifuula enfuufu. N'atemaatema zaalutaari zonna ezooterezebwako obubaane mu Yisirayeli yonna, n'alyoka akomawo e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amenyaamenya ebyoto, n'asekula Baasera n'ebifaananyi ebyole n'abifuula enfuufu, n'atemaatema ebifaananyi byonna eby'enjuba okubuna ensi yonna eya Isiraeri, n'akomawo e Yerusaalemi.