2 Chronicles 34:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obwakabaka bwe, olw'okugogola ensi n'Ekiggwa, yatuma Safani mutabani wa Azaliya, Maaseeya omukulu w'ekibuga, ne Yowa akuuma ebyafaayo, mutabani wa Yowakazi, baddaabirize Ekiggwa ky'Omukama Katonda we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’okufuga kwe ng’amaze okulongoosa ensi ne yeekaalu, n’alonda Safani mutabani wa Azaliya, ne Maaseya omwami w’ekibuga, ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama Katonda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'okufuga kwe, ng'amaze okulongoosa ensi ne Yeekaalu, n'atuma Safani, mutabani wa Azaliya, ne Maaseya eyafuga ekibuga, ne Yowa, mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza ennyumba ya Mukama Katonda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Yosiya, kabaka oyo Yosiya bwe yamala okugogola eggwanga n'Essinzizo, n'atuma Safani, mutabani wa Azaliya ne Maaseya omufuzi w'ekibuga, ne Yowa mutabani wa Yowahaazi omuwandiisi w'ebigwawo, okuddaabiriza Essinzizo lya Mukama Katonda we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'okufuga kwe bwe yamala okulongoosa ensi n'ennyumba, n'atuma Safani mutabani wa Azaliya ne Maaseya eyafuga ekibuga ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza okuddaabiriza ennyumba ya Mukama Katonda we.