2 Chronicles 34:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bajja ewa Kilukiya kabona omukulu, ne bamuwa ssente ezaali zireeteddwa mu Kiggwa ky'Omukama Abaleevi abakuumi b'oku mulyango ze baakuŋŋaanya mu Manasse, Efurayimu n'awalala wonna mu Yisirayeli, mu Yuda wonna, mu Benyamiini ne mu b'omu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagenda eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo ensimbi ezaaleetebwa mu yeekaalu ya Katonda, Abaleevi abaggazi ze baali basoloozezza mu bantu b’e Manase, ne Efulayimu, n’ekitundu kyonna ekyasigalawo, ne Yuda yonna, ne Benyamini, n’okuva eri abantu b’e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagenda eri Kirukiya, kabona asinga obukulu, ne bawaayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Katonda, Abaleevi abaggazi gye baali basoloozezza mu bantu ba Manase ne Efulayimu, ne mu bitundu ebirala byonna ebya Isiraeri, ne mu Yuda yonna, ne mu Benyamini, ne ku b'omu mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bajja eri Hilukiya Ssaabakabona, ne bawaayo ensimbi ezaaleetebwa mu Ssinzizo, Abaleevi abaggazi ze baasolooza ku bantu ba Manasse ne Efurayimu, n'ab'ebitundu ebirala byonna ebya Yisirayeli, n'ab'omu kitundu kya Yuda n'ekya Benyamiini, ne ku b'omu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bajja eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Katonda, Abaleevi abaggazi gye baali basoloozezza mu mukono gwa Manase ne Efulayimu ne ku kitundu kyonna ekya Isiraeri ekifisseewo ne ku Yuda yenna ne Benyamini ne ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi.