2 Chronicles 35:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuliga bwa Pasika ne buttibwa; bakabona ne bamansira omusaayi gwe baabakwasanga, Abaleevi bo nga babaagako ebisolo amaliba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batta abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baggyanga mu bisolo, Abaleevi bye baabaaganga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batta omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, Abaleevi ne bagubaaga, bakabona ne bamansira omusaayi, nga gubaweebwa Abaleevi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, Abaleevi ne bagubaaga. Bakabona ne bamansira omusaayi, nga gubaweebwa Abaleevi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batta Okuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baatoolera mu mukono gwabwe, Abaleevi ne bazibaaga.