2 Chronicles 35:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayawulako ebitone eby'ebitambiro ebyokye, ne babiwa abantu mu bibinja by'ennyumba za bajjajjaabwe babitambirire Omukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Ne ku nte era bwe baakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baawuula ebiweebwayo ebyokebwa balyoke babigabire abantu abaabulijjo mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Bwe batyo bwe baakola n’ente.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa, babigabire abantu abatali Baleevi, mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama balyoke babawe ng'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, okuwaayo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ne ku ente.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa babiwe ebibinja by'ennyumba za bajjajja b'abantu abatali Baleevi, okuwaayo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ku nte.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa, balyoke babawe ng'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, okuwaayo eri Mukama nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ente.