2 Chronicles 35:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebitone bya Pasika bayokya byokye ku muliro ng'etteeka bwe ligamba; ebitone ebirala ebitukuvu ne babifumba mu ntamu, mu nsaka ne mu nsaniya, ne babitwalira bunnambiro abantu bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bookya ensolo ez’Embaga ey’Okuyitako mu muliro nga bwe kyawandiikibwa, ne bafumba ebiweebwayo ebitukuvu mu ntamu, ne mu sefuliya ne mu nsaka, n’oluvannyuma ne babigabira mangu buli muntu owabulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bookya omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, nga bwe kiragirwa. N'ebiweebwayo ebitukuvu ne babifumba mu ntamu ne mu sseffuliya ne mu nsaka, ne babitwala mangu abantu bonna abatali Baleevi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bookya omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, nga bwe kiragirwa. N'ebiweebwayo ebitukuvu, ne babifumba mu ntamu ne mu sseffuliya ne mu nsaka, ne babitwalira mangu abantu bonna abatali Baleevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bookya Okuyitako omuliro ng'ekiragiro bwe kyali: n'ebiweebwayo ebitukuvu ne babifumba mu ntamu ne mu seffuliya ne mu nsaka, ne babitwala mangu eri abaana b'abantu bonna.