2 Chronicles 35:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma bo ne beetegekera eyaabwe ne bakabona, kubanga bakabona, batabani ba Aroni, baali ku gwa kuweereza bitambiro byokye n'amasavu okutuusa ekiro. Abaleevi okwetegekera eyaabwe n'eya bakabona batabani ba Aroni kyebaava bakikola oluvannyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo Abaleevi ne bakabona ne beeteekerateekera bo ne bakabona kubanga bakabona bazzukulu ba Alooni tebaalina bbanga olw’omulimu ogw’okuwaayo ebiweebwayo n’amasavu gwe baakola okuzibya obudde. Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bo ne bakabona batabani ba Alooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma Abaleevi ne beeteekerateekera bokka ne baateekerateekera ne bakabona ab'olulyo lwa Alooni, kubanga bakabona tebaalina bbanga olw'omulimu ogw'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu okuzibya obudde: Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bokka era ne baateekereteekera ne bakabona ab'olulyo lwa Alooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma bo bennyini ne beeteekerateekera era ne bateekerateekera ne bakabona ab'olulyo lwa Arooni kubanga bakabona tebaalina bbanga, nga bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, era n'amasavu okutuusa obudde okuziba, Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bo bennyini ne bateekerateekera ne bakabona ab'olulyo lwa Arooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma ne beeteekerateekera bokka ne bakabona; kubanga bakabona batabani ba Alooni tebaalina bbanga olw'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu okuzibya obudde: Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bokka ne bakabona batabani ba Alooni.