2 Chronicles 35:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayimbi ab'olunyiriri lw'Abaasafu baali mu kifo kyabwe ekyalagirwa Dawudi, Asafu, Emani ne Yedutuni omulabi wa kabaka. Abaggazi baali ku miryango gyonna, tebaaseguka kuva ku mulimu gwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabakolera entegeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abayimbi bazzukulu ba Asafu baali mu bifo byabwe nga Dawudi, ne Asafu, ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka, bwe baalagira. N’abaggazi baali ku buli luggi, nga tebava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abayimbi ab'olulyo lwa Asafu baali mu kifo kyabwe, nga Dawudi, ne Asafu ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka bwe balagira. N'abaggazi baali ku buli luggi, tebaava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayimbi ab'olulyo lwa Asafu baali mu bifo byabwe, nga Dawudi ne Asafu ne Hemani, ne Yedutuuni omulabi wa kabaka bwe baalagira. N'abaggazi ne batava ku miryango, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abayimbi batabani ba Asafu baali mu kifo kyabwe, ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali, ne Asafu ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka; n’abaggazi baali ku buli luggi: tebeetaaga kuva ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.