2 Chronicles 35:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe gutyo omukolo gw'Omukama gwonna gwategekebwa bulungi okukuza Pasika, n'okutambira ebitone by'ebitambiro ebyokye ku mwaliiro gw'Omukama nga kabaka Yosiya bwe yali alagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe kutyo okuweereza kwonna okw’Embaga ey’Okuyitako n’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama bwe kwali, Kabaka Yosiya kwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe kutyo okuweereza kwonna okwa Mukama ne kuteekebwateekebwa ku lunaku olw'okukwata Okuyitako, n'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama, ng'ekiragiro kya kabaka Yosiya bwe kyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe gutyo omukolo gwonna ogw'okusinza Mukama ne guteekebwateekebwa ku lunaku olwo, okukola Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku alutaari ya Mukama, nga kabaka Yosiya bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kutyo okuweereza kwonna okwa Mukama ne kuteekebwateekebwa ku lunaku olwo okukwata Okuyitako n'okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama ng'ekiragiro kya kabaka Yosiya bwe kyali.