2 Chronicles 35:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okukuza Pasika mu ngeri eno kwali tekubangawo okuva mu biseera bya Samweli omulanzi. Ne mu bakabaka bonna aba Yisirayeli tewaali yakuza Pasika nga Yosiya bwe yakola wamu ne bakabona, Abaleevi, Yuda yenna, abaava mu Yisirayeli n'ab'omu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waali tewabangawo Mbaga ya Kuyitako ng’eyo mu Isirayiri okuva mu nnaku za Samwiri nnabbi, nga eyaliwo mu kiseera kya Yosiya, ne bakabona n’Abaleevi, ne Yuda yonna ne Isirayiri abaaliwo, n’abatuuze ba Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali tewabangawo mbaga ya ng'eyo mu Isiraeri, okuva ku biro bya Samwiri nnabbi, ng'eyaliwo mu kiseera kya Yosiya. Bakabona, n'Abaleevi n'ab'omu Yuda bonna, n'ab'omu Isiraeri, n'ab'omu Yerusaalemi baaliyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva mu biseera bya Samweli omulanzi waali tewabangawo Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako ng'eno mu Yisirayeli. Era mu bassekabaka waali tewabangawo akola Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako nga Yosiya gye yakola. Bakabona n'Abaleevi n'ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu baaliyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewabangawo Kuyitako okwafaanana okwo okwakwatibwa mu Isiraeri okuva ku biro bya Samwiri nnabbi; so tewabangawo ku bassekabaka ba Isiraeri eyakwata Okuyitako okufaanana okwo Yosiya kwe yakwata, ne bakabona n'Abaleevi ne Yuda yenna ne Isiraeri abaali eyo n’abo abaali mu Yerusaalemi.