2 Chronicles 35:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosiya bwe yamala okuddaabiriza Ekiggwa, Neko kabaka w'e Misiri n'ayambuka okutabaala mu Karucemisi ku Mugga Furaati; Yosiya n'agenda okumusisinkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Yosiya ng’amaze okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n’atabaala Kalukemisi ku mugga Fulaati, ne Yosiya n’agenda amutabaale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Yosiya ng'amaze okuteekateeka Yeekaalu, Neeko kabaka w'e Misiri n'alumba Kalukemisi ku Mugga Fulaati: Yosiya n'agenda okumulwanyisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna bwe byaggwa, Yosiya ng'amaze okuteekateeka Essinzizo, Neeko kabaka w'e Misiri n'ajja okulwanira olutalo e Karukemisi ku Mugga Ewufuraate. Yosiya n'agenda okumulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Yosiya bwe yamala okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n'atabaala Kalukemisi mu kkubo lya Fulaati: Yosiya n'afuluma okulwana naye.