2 Chronicles 35:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Neko n'amutumira ababaka n'amugamba nti: “Onfaako ki ggwe, kabaka wa Yuda? Si ggwe nnumbye kaakati, wabula ennyumba ennwanyisa. Katonda andagidde ŋŋende bunnambiro. Leka kuziyiza Katonda ali nange, sikulwa ng'akusanyaawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Neeko n’amutumira ababaka ng’amugamba nti, “Onvunaana ki gwe kabaka wa Yuda? Sitabaala gwe leero, wabula Kalukemisi ggwe nnwana naye, kubanga Katonda andagidde okwanguwa. Noolwekyo toziyiza Katonda, kubanga ali wamu nange. Bw’otoobeerwe anaakuzikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Neeko n'amutumira ababaka ng'agamba nti, “Onvunaana ki, ggwe kabaka wa Yuda? Ku mulundi guno sizze kulumba ggwe, wabula ennyumba gye nnwana nayo, Katonda andagidde okwanguwa. Vva ku Katonda ali nange, aleme okukuzikiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula Neeko n'amutumira ababaka ng'agamba nti: “Nkulinako luyombo ki ggwe kabaka wa Buyudaaya? Ku mulundi guno sizze kulumba ggwe, wabula ab'ennyumba gye naggulako olutalo, era Katonda andagidde okwanguwa. Vva ku Katonda ali nange, aleme okukuzikiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'atuma ababaka eri ye ng'ayogera nti Onvunaana ki, ggwe kabaka wa Yuda? sitabaala ggwe leero wabula ennyumba gye nnwana nayo; era Katonda andagidde okwanguwa: va ku Katonda ali nange aleme okukuzikiriza.