2 Chronicles 35:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yosiya teyamuleka, wabula yeefuusa okumulwanyisa, n'atagondera bw'atyo bigambo bya Neko ebyava mu kamwa ka Katonda. N'agenda okumulwanyisa mu museetwe gw'e Megiddo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yosiya n’atamuwuliriza, ne yeebulizabuliza mu ggye n’agenda okumutabaala. N’atawuliriza bigambo bya Neeko ebyava eri Katonda, naye n’agenda okumulwanyisa mu lusenyi lwa Megiddo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yosiya n'atamuwuliriza bigambo bya Neeko, Katonda bye yamwogeza, naye ne yeefuulafuula n'agenda okulwanira mu kiwonvu Megiddo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yosiya n'agaana okumuvaako, n'atawuliriza bigambo bya Neeko, Katonda bye yamwogeza, wabula ne yeefuulafuula n'agenda okulwanira mu kiwonvu Megiddo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yosiya n'ataganya kukyusa amaaso ge okumuvaako, naye ne yeefuula okulwana naye, n'atawulira bigambo bya Neeko ebyava eri akamwa ka Katonda, n'ajja okulwanira mu kivonvu Megiddo.