2 Chronicles 35:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza be ne bamuggya ku kigaali ne bamussa mu kigaali kye ekirala ne bamutwala e Yeruzaalemu, n'afa, n'aziikibwa mu biggya bya bajjajjaabe; Yuda yenna ne Yeruzaalemu ne bamukaabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bamuggya mu ggaali lye ne bamuteeka mu ggaali eddala lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira. N’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yonna ne Yerusaalemi ne bamukungubagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaddu be ne bamuggya mu ggaali ne bamuteeka mu ggaali lye eryokubiri lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi; n'afa n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Ab'omu Yuda bonna n'ab'omu Yerusaalemi ne bakaabira Yosiya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaweereza be ne bamuggya mu kigaali kye, ne bamuteeka mu kigaali ekyokubiri kye yalina, ne bamutwala e Yerusaalemu. N'akisa omukono, n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu ne bakaabira Yosiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaddu be ne bamuggya nu ggaali ne bamuteeka mu ggaali lye ery'okubiri lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi; n'afa n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yenna ne Yerusaalemi ne bakaabira Yosiya.