2 Chronicles 35:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya n'afumba ennyimba ezikungubagira Yosiya; n'okutuusa ku lunaku lwa leero abayimbi abasajja n'abakazi bakyakungubagira Yosiya mu nnyimba ezo. Zaafuuka nga tteeka mu Yisirayeli; zaawandiikibwa mu kitabo ky'Ennyimba z'Okukungubaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeremiya n’ayiiya ennyimba ez’okukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja n’abakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ez’okukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya, n'abayimbi bonna abasajja n'abakazi ne bagifuula mpisa mu Isiraeri, okuyimba ku Yosiya nga bamukungubagira n'okutuusa ne leero. Era ennyimba zaabwe zaawandiikibwa mu z'okukungubaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya. Abayimbi bonna abasajja n'abakazi ne bagifuula mpisa mu Yisirayeli okuyimba ku Yosiya nga bamukungubagira n'okutuusa kati. Era ennyimba zaabwe zaawandiikibwa mu z'okukungubaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya: n'abasajja bonna abayimbi n'abakazi abayimbi ne boogera ku Yosiya nu kukungubaga kwabwe ne leero; ne bakufuula etteeka mu Isiraeri: era, laba, kwawandiikibwa mu kukungubaga.