2 Chronicles 35:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi abaayigirizanga Yisirayeli yenna, ate nga bawongeddwa Omukama, n'abagamba nti: “Musse Ssanduuku entukuvu mu Kiggwa Solomoni mutabani wa Dawudi kabaka wa Yisirayeli kye yazimba. Si ya kuddamu kutwalirwa ku bibegabega byammwe. Kati muweereze Omukama Katonda wammwe n'abantu ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba Abaleevi abaayigirizanga Isirayiri yenna, era abaali abawonge eri Mukama nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu yeekaalu ya Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri, gye yazimba. Si yaakwetikkanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n’abantu be Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba Abaleevi abaayigirizanga Isiraeri yenna, era abatukuvu eri Mukama, nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu Yeekaalu, Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri gye yazimba. Si yakwetikanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n'abantu be Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi abaayigirizanga abantu mu Yisirayeli mwonna era abaali abatukuvu eri Mukama, n'abagamba nti: “Muteeke Essanduuko Entukuvu mu Ssinzizo, Solomooni mutabani wa Dawudi kabaka wa Yisirayeli lye yazimba. Tewakyali kugitwaliranga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n'abantu be Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba Abaleevi abaayigirizanga Isiraeri yenna, abatukuvu eri Mukama, nti Muteeke essanduuko entukuvu mu nnyumba Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isiraeri gye yazimba; tewakyabeera mugugu ku bibegabega byammwe: muweereze nno Mukama Katonda wammwe n'abantu be Isiraeri.