2 Chronicles 35:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muweereze mu kitukuvu nga buli kibinja ky'Abaleevi kiriko ennyumba za bajjajja eza bannammwe, abantu aba bulijjo, be kikiikiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muyimirire awatukuvu mu bibinja eby’Abaleevi eby’ennyumba za bajjajjammwe eza baganda bammwe abantu abaabulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era muyimirire mu Kifo Ekitukuvu, nga mugoberera ebibinja by'ennyumba za bajjajja ba baganda bammwe abatali Baleevi, buli kibinja kibeeko ab'ennyumba ya bajjajja b'Abaleevi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era muyimirire mu Kifo Ekitukuvu, nga mugoberera ebibinja by'ennyumba za bajjajja ba baganda bammwe abatali Baleevi, buli kibinja kibeeko ab'ennyumba ya bajjajja b'Abaleevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muyimirire mu kifo ekitukuvu ng'ennyumba za bakitaabwe eza baganda bammwe abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, era wabeewo eri buli muntu omugabo ogw'ennyumba ya bakitaabwe ey'Abaleevi.