2 Chronicles 35:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutte obuliga bwa Pasika, mwetukuze, era mubuteeketeeke olwa baganda bammwe, nga mukola ng'Omukama bwe yagamba ng'ayita mu Musa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutte ennyana n’abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, mwetukuze, muteekereteekere baganda bammwe, nga mugoberera ebyo Mukama bye yalagira ng’ayita mu Musa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mutte omwana gw'endiga ogw'Embaga ey'Okuyitako, mwetukuze, era muteekereteekere baganda bammwe okukola nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutte omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, mwetukuze, era muteekereteekere baganda bammwe okukola nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mutte Okuyitako mwetukuze muteekereteekere baganda bammwe okukola ng'ekigambo kya Mukama bwe kiri mu mukono gwa Musa.