2 Chronicles 35:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosiya abantu bonna abaaliwo yabawa obuliga n'embuzi emitwalo esatu ng'ebitone bya Pasika, n'ente enkumi ssatu, byonna ebyo nga kabaka abitodde mu bibye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yosiya n’agabira abantu abaabulijjo bonna abaaliwo endiga n’embuzi emitwalo esatu okuba ebiweebwayo olw’Embaga ey’Okuyitako, n’ente enkumi ssatu okuva mu byobugagga bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yosiya n'atoola okuva mu bisibo bye abaana b'endiga n'ab'embuzi, emitwalo esatu (30,000), n'ente ennume enkumi ssatu (3,000), n'aziwa abantu bonna abaaliwo abatali Baleevi okuba ebiweebwayo olw'Embaga ey'Okuyitako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosiya n'atoola mu magana ge ne mu bisibo bye abaana b'endiga n'ab'embuzi emitwalo esatu, n'ente ennume enkumi ssatu, n'aziwa abantu bonna abaaliwo abatali Baleevi zibe ez'ebiweebwayo eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yosiya n'awa abaana b'abantu ku mbuzi abaana b'endiga n'ab'embuzi, zonna ez'ebiweebwayo ez'Okuyitako eri bonna abaali eyo okuweza obukumi busatu, n'ente enkumi ssatu: ezo zaali za ku bintu bya kabaka.