2 Chronicles 35:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abakungu be baatonera abantu kyeyagalire, bakabona n'Abaleevi. Kilukiya, Zakariya ne Yekiyeli, abakulu b'Ekiggwa ky'Omukama, baawa bakabona, ku lw'ebitone bya Pasika, endiga enkumi bbiri mu lukaaga, n'ente ebikumi bisatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakungu be nabo, ku bwabwe ne bagabira abantu ne bakabona n’abaleevi ebintu. Kirukiya, ne Zekkaliya ne Yekyeri abaddukanyanga emirimu gya yeekaalu ya Mukama ne bawa bakabona abaana b’endiga n’ab’embuzi enkumi bbiri mu lukaaga, n’ente ebikumi bisatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abakungu be nabo ku lwabwe, ne bawa abantu ne bakabona n'Abaleevi ebintu eby'okukozesa. Kirukiya, Zekkaliya ne Yekyeri, abakulira ennyumba ya Katonda, ne bawa bakabona abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi bbiri mu lukaaga (2,600), n'ente ennume bisatu (300) okuba eze biweebwayo olw'Okuyitako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abakungu be nga beeyagalidde ne bawa abantu ne bakabona n'Abaleevi ebintu eby'okukozesa. Hilukiya ne Zekariya ne Yehiyeeli abakulira Essinzizo, ne bawa bakabona abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi bbiri mu lukaaga, n'ente ennume ebikumi bisatu ez'ebiweebwayo eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakulu be ne bawa abantu okuba ekiweebwayo ku bwabwe, eri bakabona n'Abaleevi. Kirukiya ne Zekkaliya ne Yekyeri, abaafuga ennyumba ya Katonda, ne bawa bakabona olw'ebiweebwayo eby'Okuyitako ebisolo ebitono enkumi bbiri mu lukaaga n'ente ebikumi bisatu.