2 Chronicles 35:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Konaniya ne baganda be Semaaya ne Netaneli, Kasabiya, Yeyeli ne Yozabadi, abakulu b'Abaleevi, baawa Abaleevi abalala ebitone bya Pasika endiga enkumi ttaano n'ente ebikumi bitaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Konaniya, ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu b’Abaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana b’endiga n’ente enkumi ttaano nga by’ebiweebwayo eby’Embaga ey’Okuyitako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Konaniya, Semaaya, Nesaneeri, baganda be, ne Kasabiya, Yeyeeri ne Yozabadi, abakulu b'Abaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi ttaano (5,000), okuba ebiweebwayo olw'Okuyitako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne Konaniya ne Semaaya ne Nataneeli baganda be, ne Hasabiya ne Yayeli ne Yozabadi abakulu b'Abaleevi, ne bawa Abaleevi abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi ttaano ez'ebiweebwayo eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Konaniya ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu b'Abaleevi, ne bawa Abaleevi olw'ebiweebwayo eby'Okuyitako ebisolo ebitono enkumi ttaano n'ente ebikumi bitaano.