2 Chronicles 36:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ntandikwa y'omwaka, kabaka Nebukadunezzari yamutumya n'amutwala e Babiloni, wamu n'ebintu eby'omuwendo kuva mu Kiggwa ky'Omukama. N'assaawo Zedekiya kitaawe omuto abeere kabaka wa Yuda ne Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omwaka bwe gwali nga gunaatera okuggwaako, kabaka Nebukadduneeza n’amutumya, n’aleetebwa e Babulooni n’ebintu byonna eby’omuwendo okuva mu yeekaalu ya Mukama. Nebukadduneeza n’afuula Zeddekiya kitaawe omuto okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu kiseera ky'omwaka ebimera mwe bitojjerera, kabaka Nebukadduneeza n'amutumya n'abamuleeta e Babbulooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu nnyumba ya Mukama, n'ateekawo Zeddekiya muganda wa Yekoyakini okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ky'omwaka ebimera mwe bitojjerera bwe kyatuuka, kabaka Nebukadunezzari n'amutumya, ne bamuleeta e Babilooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu Ssinzizo, n'ateekawo Zeddeekiya muganda wa Yehoyakiini okuba kabaka wa Buyudaaya ne Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwaka bwe gwadda kabaka Nebukadduneeza n'atuma n'amuleeta e Babulooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu nnyumba ya Mukama, n'afuula Zeddekiya muganda we kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.