2 Chronicles 36:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama Katonda we; teyeetoowaliza Yeremiya omulanzi eyayogeranga by'aggye mu kamwa ka Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we, n’ateetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya, eyayogeranga ekigambo kya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi, n'ateetoowaliza Yeremiya nnabbi, eyamubuuliranga ebyavaanga ewa Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebitasiimibwa Mukama Katonda we. N'ateetoowaliza Yeremiya omulanzi eyamubuulira Mukama bye yamutuma,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi; teyeetoowaza mu maaso ga Yeremiya nnabbi ng'ayogera ebiva mu kamwa ka Mukama.