2 Chronicles 36:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yajeemera ne kabaka Nebukadunezzari, eyali amulayizza mu Katonda. Yakakanyaza ensigo ye, n'agugubya omutima gwe, n'agaana okudda eri Omukama, Katonda wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ajeemera ne kabaka Nebukadduneeza eyamulayiza mu maaso ga Katonda. N’akakanyaza ensingo ye n’omutima gwe, n’atakyuka kudda eri Mukama Katonda wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ajeemera kabaka Nebukadduneeza eyali amulayizza Katonda nti anaamuwuliranga, naye n'aguguba n'akakanyaza omutima gwe, n'atakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era n'ajeemera kabaka Nebukadunezzari, eyali amulayizza Katonda nti anaamuwuliranga, naye n'aguguba n'akakanyaza omutima gwe, n'ateenenyeza Mukama Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ajeemera kabaka Nebukadduneeza eyali amulayizza Katonda: naye n'akakanyaza ensingo ye n'akalubya omutima gwe obutakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri.

Recommended Reading