2 Chronicles 36:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wa bajjajjaabwe yabatumiranga buli olukedde ng'ayita mu babaka, kubanga yali akwatirwa ekisa abantu be n'ekisulo kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’ayogera nabo ng’ayita mu babaka be, ng’asaasira abantu be n’ekifo mu abeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'abatumiranga ababaka be, awatali kwosa, kubanga yasaasira abantu be n'ekifo mw'abeera:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'ayongera okubatumiranga ababaka be awatali kwosa, kubanga yali akwatirwa bo n'Essinzizo lye ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'abatumiranga mu babaka be, ng'agolokoka mu makya n'atuma; kubanga yasaasira abantu be n'ekifo mw'abeera: