2 Chronicles 36:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo ababaka ba Katonda baabaziimuula, ne banyooma ekigambo kye, ne bakinagga abalanzi be, okutuusa obusungu bw'Omukama lwe bwatumbukira ku bantu be, era tewaali kuwonyezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga n’ebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be okutuusa Mukama lwe yasunguwalira ennyo abantu be, nga takyayinza kubasonyiwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne basekerera ababaka ba Katonda, ne banyoomoola ebigambo bye, ne bayisa bubi abalanzi be, okutuusa Mukama lwe yasunguwalira ennyo abantu be, nga tebakyalina bwe bawona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be okutuusa obusungu bwa Mukama lwe bwabaawo eri abantu be, ne watabaawo kuwona.