2 Chronicles 36:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'abaleetera kabaka w'Abakaludeya n'atta abavubuka baabwe n'ekitala mu Kiggwa kyabwe; teyasaasira muvubuka mulenzi na muwala, yadde omukulu newandibadde omukadde; bonna Katonda yabawaayo mu mikono gya Nebukadunezzari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyeyava aweereza kabaka w’Abakaludaaya okubalumba, n’atta n’ekitala abavubuka baabwe mu nnyumba awasinzizibwa, n’atalekaawo muvubuka n’omu newaakubadde abawala abato, newaakubadde abasajja abakulu wadde abakadde ennyo. Bonna Katonda yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyeyava aleeta kabaka w'Abakaludaaya okubalwanyisa, n'attira abalenzi baabwe n'ekitala mu nnyumba ya Mukama, ne batasaasira mulenzi newakubadde omuwala, omukadde newakubadde akootakoota. Katonda bonna yabawaayo mu mukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aleeta kabaka w'Abakaludaaya okubalwanyisa, n'attira abavubuka baabwe mu kifo kyabwe eky'Essinzizo, awatali kusaasira muntu n'omu omulenzi wadde omuwala, omukadde wadde akootakoota. Katonda n'abawaayo bonna mu mikono gya kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyeyava abaleetako kabaka w'Abakaludaaya, n'attira abalenzi baabwe n'ekitala mu nnyumba ey'ekigwa kyabwe, ne batasaasira mulenzi newakubadde omuwala, omukadde newakubadde akootakoota: bonna yabagabula mu mukono gwe.