2 Chronicles 36:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna ebyeyambisibwa mu Kiggwa kya Katonda yabitwala e Babiloni, ebinene n'ebitono, n'eby'omuwendo eby'Ekiggwa, ebya kabaka n'eby'abakungu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne yeetikka ebintu ebinene n’ebitono byonna okuva mu yeekaalu ya Katonda, n’eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’amawanika ga kabaka n’abakungu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Katonda, ebinene ne bitono, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga bya kabaka, n'eby'abakungu be, byonna n'abireeta e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebintu byonna eby'omu Ssinzizo, ebinene n'ebitono n'ebyobugagga eby'omu Ssinzizo, n'ebya kabaka era n'eby'abakungu be, byonna kabaka w'Abakaludaaya n'abitwala e Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Katonda, ebikulu n'ebito, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga bya kabaka n'eby'abakulu be; ebyo byonna n'abireeta e Babulooni.