2 Chronicles 36:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baateekera omuliro Ekiggwa kya Katonda, ne bamenya ne bbugwe wa Yeruzaalemu; baayokya embiri zonna, na buli kya muwendo kyonna ekyaliyo ne bakizikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bookya yeekaalu ya Katonda ne bamenyaamenya ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya n’embiri zonna, ne bazikiriza n’ebintu eby’omuwendo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bookya ennyumba ya Katonda ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bookya Essinzizo ne bamenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu ne bookya amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bookya ennyumba ya Katonda ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya omuliro amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi.