2 Chronicles 36:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaasumattuka ekitala Nebukadunezzari yabatwala e Babiloni ne bafuuka baweereza be na ba batabani be okutuusa kabaka wa Buperusi lwe yajja mu buyinza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abo abaawona ekitala, n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ne babeera baddu be n’aba batabani be okutuusa ku kufuga kw’obwakabaka bw’Obuperusi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abaawona okuttibwa n'abatwala e Babbulooni ne baba baddu be, ne baba batabani be, okutuusa ku bufuzi bw'obwakabaka bw'Abaperusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abo abaawona okuttibwa ne batwalibwa e Babilooni ne baba baddu ba kabaka waayo, n'aba batabani be, okutuusa ku bufuzi bw'obwakabaka bwa Perusiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abaali bawonye ekitala n'abatwala e Babulooni; ne baba baddu eri ye n'eri batabani be okutuusa ku kufuga kw'obwakabaka bw'Obuperusi: