2 Chronicles 36:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okutuukiriza Omukama kye yayogera mu kamwa ka Yeremiya nti: “Okutuusa ng'ensi ejagulizza mu Sabbaato zaayo, ejja kusigala ng'ewummudde ebbanga lyonna w'eneebeerera ng'eyabuliddwa, okutuusa ng'emyaka nsanvu giyiseewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi n’ekuuma ssabbiiti zaayo, ekiseera kyonna kye yamala mu kubonaabona kwayo okutuusa emyaka ensanvu bwe gyagwako, ng’ekyo kituukiriza ekigambo Mukama kye yayogera mu Yeremiya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo kyabaawo okutuukiriza ekigambo kya Mukama kye yayogera nga ayita mu Yeremiya nti, “Ensi eribeera matongo okumala emyaka nsanvu (70), okusasula Ssabbiiti ezitaakuumibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kyabaawo okutuukiriza ekigambo kya Mukama kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya nti: “Ensi eribeera matongo okumala emyaka nsanvu, okusasula ekiwummulo kya Sabbaato ekitaakuumibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutuukiriza ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya okutuusa ensi lwe yasanyukira ssabbiiti zaayo: kubanga ennaku zonna ze yazikira yakwata ssabbiiti; okuweza emyaka nsanvu.