2 Chronicles 36:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogusooka ogwa Kuuro kabaka wa Buperusi, okutuukiriza ekigambo ky'Omukama kye yali ayogedde ng'ayita mu Yeremiya, Omukama yasindika mu mutima gwa Kuuro kabaka wa Buperusi, n'ayisa ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, n'akiteeka mu buwandiike ng'agamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Kuulo kabaka wa Buperusi, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka wa Buperusi ng’ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya bwe kyali, okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okuwandiika nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, Mukama n'atuukiriza ekigambo kye kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya. Mukama n'akubiriza Kuulo kabaka w'e Buperusi, okufulumya ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, nga kiwandiikiddwa nti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka omubereberye ogw'obufuzi bwa Kuuro kabaka wa Perusiya, Mukama n'atuukiriza ekigambo kye, kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya. Mukama n'akubiriza kabaka wa Perusiya, okufulumya ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, nga kiwandiikiddwa nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya kituukirire, Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, n'okulangira n'alangira okubuna obwakabaka bwe bwonna, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'ayogera nti