2 Chronicles 36:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kino Kuuro kabaka wa Buperusi ky'agamba: ‘Omukama Katonda w'eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw'omu nsi; andagidde okumuzimbira ekiggwa mu Yeruzaalemu eky'omu Yuda. Buli yenna ow'omu ggwanga lye ali mu mmwe, Omukama Katonda we abeere naye; oyo ayambuke.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’atyo bw’ayogera Kuulo kabaka wa Buperusi nti, “ ‘ Mukama Katonda w’eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw’omu nsi, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe ow’oku bantu be, Mukama Katonda abeere naye, ayambuke.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Kale buli ali mu mmwe ku bantu be, ayambukeyo, Mukama Katonda we abeere wamu naye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kuuro kabaka wa Perusiya agamba nti: ‘Mukama Katonda w'eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw'omu nsi era ankuutidde okumuzimbira Essinzizo mu Yerusaalemu ekiri mu Buyudaaya. Kale buli ali mu mmwe ku bantu be, ayambukeyo, Mukama Katonda we abeere wamu naye.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katanda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Mukama Katonda we abeere naye, ayambuke.