2 Chronicles 36:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Misiri yafuula Eliyakimu, muganda wa Yowakazi, kabaka wa Yuda ne Yeruzaalemu, erinnya lye n'alikyusa n'amutuuma Yoyakimu. Yaddira Yowakazi muganda wa Eliyakimu n'amutwala mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’e Misiri n’afuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakaazi okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu, naye n’atwala Yekoyakaazi muganda we nga musibe e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Neeko, Kabaka w'e Misiri n'afuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakaazi, okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n'akyusa erinnya lye n'amutuuma Yekoyakimu. Neeko n'atwala Yekoyakaazi e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka we Misiri oyo n'addira Eliyakimu muganda wa Yehoyahaazi n'amufuula kabaka wa Buyudaaya ne Yerusaalemu, n'akyusa erinnya lya Eliyakimu, n'amutuuma Yehoyakiimu. Neeko n'akwata Yehoyahaazi muganda wa Yehoyakiimu, n'amutwala e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka w'e Misiri n'afuula Eriyakimu muganda we kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n'awaanyisa erinnya lye n'alifuula Yekoyakimu. Neeko n'atwala Yekoyakaazi muganda we n'amutwala e Misiri.