2 Chronicles 36:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyakimu yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu etaano; yafugira emyaka kkumi na gumu mu Yeruzaalemu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama Katonda we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyakimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyakimu yali wa myaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyakiimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka. N'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu, n'akola ebitaasiimibwa Mukama Katonda we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyakimu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerumalemi: n'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi.