2 Chronicles 36:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni yamulumba n'amusiba n'enjegere z'ekikomo, n'amutwala e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo lumu Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amulumba, n’amusiba mu masamba, n’amutwala e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'amulumba, n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nebukadunezzari Kabaka w'e Babilooni n'ajja n'amulwanyisa n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'amutabaala, n'amusiba mu masamba okumutwala e Babulooni.