2 Chronicles 36:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Yoyakimu, ebyenyinyalwa bye yakola, n'ebirala ebyamuzuulibwako byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yisirayeli n'aba Yuda. Yoyakini mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekoyakimu, eby’ekivve bye yakola, ne byonna bye yavunaanibwa, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n’amusikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu n'emizizo gye yakola n'ebyo bye yasobya, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n'amusikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebirala ebifa ku Yehoyakiimu, n'ebimuvunaanibwa, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Bassekabaka ba Yisirayeli ne Buyudaaya. Yehoyakiini mutabani we ye yamusikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu n'emizizo gye gye yakolanga n'ebyo ebyalabika mu ye, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda: Yekoyakini mutabani we n'amuddira mu bigere.