2 Chronicles 36:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyakini yafuuka kabaka nga wa myaka kkumi na munaana; yafugira emyezi esatu mu Yeruzaalemu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyakini yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyezi esatu n’ennaku kkumi mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyakini yali wa myaka munaana bwe yatandikira okufuga, n'afugira emyezi esatu ne ennaku kkumi mu Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyakiini yali wa myaka munaana we yafuukira kabaka. N'afugira emyezi esatu n'ennaku kkumi mu Yerusaalemu. N'akola ebitasiimibwa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyakini yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu ko ennaku kkumi mu Yerusaalemi: n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.