2 Chronicles 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuramu yakola omwaliiro gw'ekikomo gwa mikono amakumi abiri obuwanvu, emikono amakumi abiri obugazi, n'emikono kkumi obusimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yazimba ekyoto eky’ekikomo, obuwanvu bwakyo mita mwenda, n’obugazi bwakyo mita mwenda, ng’obugulumivu bwakyo mita nnya n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Sulemaani n'akola ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono abiri (20), n'obugazi bwakyo emikono abiri (20), n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Solomooni n'akola alutaari ey'ekikomo, nga ya mita mwenda obugazi, mita mwenda obuwanvu, ne mita nnya n'ekitundu obugulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yakola n'ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi.