2 Chronicles 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuramu yakola ensuwa, ebitiiyo, n'ebibya ebimansira. Kuramu bw'atyo n'amaliriza omulimu gwonna ogwa kabaka Solomoni mu Kiggwa ky'Omukama:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola n’ensuwa, n’ebisena, ne bbakuli. Awo Kulamu n’amaliriza omulimu ogwali gumuwereddwa kabaka Sulemaani ku yeekaalu ya Katonda:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kulamu n'akola entamu n'ebijiiko n'ebibya. Awo Kulamu n'amaliriza okukola omulimu gw'ennyumba ya Katonda ogw'amuweebwa kabaka Sulemaani:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Huramu n'akola entamu n'ebijiiko n'ebibya. N'amaliriza ebintu byonna bye yakolera Kabaka Solomooni mu Ssinzizo:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kulamu n'akola entamu n'ebisena n'ebibya. Awo Kulamu n'amala okukola omulimu gwe yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Katonda: