2 Chronicles 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ennyiriri bbiri ez'amakomamawanga ku buli katimba akatimbiddwa ku nkata ezaakula ng'ebibya ezaali ku ntwe z'empagi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amakomamawanga ebikumi bina obw’ebitimba biri ebibiri, buli kitimba nga kirina ennyiriri bbiri ez’amakomamawanga, nga zitimbye emitwe gy’empagi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amakomamawanga bina (400) ag'ekikomo agateekeddwa mu mbu bbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
amakomamawanga ebikumi ebina ag'ekikomo agateekeddwa mu mbu ebbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amakomamawanga ebikumi bina ag'oku bitimba byombi; embu bbiri ez'amakomamawanga za ku buli kitimba, okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku mpagi.