2 Chronicles 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ensuwa, ebitiiyo, n'entoozo. Ebintu byonna Kuramu-Abi bye yakolera kabaka Solomoni olw'Ekiggwa ky'Omukama yabikola mu kikomo ekizigule.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ensuwa, n’ebisena, n’ewuuma ez’ennyama, n’ebintu byonna ebigenderako. Ebintu byonna Kulamu bye yakolera Kabaka Sulemaani ku lwa yeekaalu ya Mukama yabizigula n’ekikomo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
entamu, n'ebijiiko, n'amakato ge bakwasisa ennyama. Kulamu n'akolera Sulemaani ebintu byonna ebyo mu kikomo ekizigule eby'okukozesanga mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
entamu, n'ebijiiko, n'ewuuma ezikwata ennyama. Huramu omukozi w'eby'emikono omwatiikirivu, n'akolera Solomooni ebintu ebyo byonna eby'ekikomo ekizigule, eby'okukozesanga mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'entamu n'ebisena n'amakato agakwasa ennyama n'ebintu byonna ebyako Kulamu kitaawe n'abikolera kabaka Sulemaani olw'ennyumba ya Mukama, bya bikomo bizigule.