2 Chronicles 4:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni ebintu byonna bye yakozesa byali bingi nnyo; obuzito bw'ekikomo tebwamanyika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’akola ebintu ebyo byonna nga bingi nnyo nnyini, n’obuzito bw’ekikomo mwe byakolebwa ne butamanyibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani n'akola ebintu ebyo byonna nga bingi nnyo, n'obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa tebwategeerekeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu ebyo byonna Solomooni bye yakola, byali bingi nnyo, obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa ne batabupima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Sulemaani bwe yakola ebintu byonna bingi nnyo nnyini: kubanga ebikomo obuzito bwabyo tebwategeerekeka.