2 Chronicles 4:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni yakola byonna eby'okukozesa mu Kiggwa ky'Omukama: Omwaliiro ogwa zaabu; emmeeza eya zaabu okw'okuteekebwa Emigaati egy'Okwolesebwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’akola ebintu byonna ebyole mu yeekaalu ya Katonda: ekyoto ekya zaabu, n’emmeeza okwabanga emigaati egy’okulaga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani n'akola ebintu byonna eby'okukozesanga mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwateekebwanga emigaati egy'okulaga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni n'akola n'ebintu byonna eby'okukozesebwanga mu Ssinzizo: alutaari eya zaabu n'emmeeza okuteekebwa emigaati egiweebwayo eri Katonda;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sulemaani n'akola ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwabanga emigaati egy'okulaga;