2 Chronicles 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate wansi w'omugo Ennyanja yali esibiddwako ebifaananyi by'ente ennume kkumi buli mukono okwetooloola wonna. Ente zaali ziweeseddwa mu nnyiriri bbiri, nga zonna n'Ennyanja biri ekintu kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wansi waakyo waaliyo ebifaananyi by’ente ennume nga mumbe, nga buli emu eri kitundu kya mita obuwanvu, era nga zikyetoolodde. Ebifaananyi byasaanuusibwanga mu nnyiriri bbiri bbiri, ekidiba bwe kyasaanuusibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwetooloola omugo ebweru wagwo gwaliko embu bbiri ez'ebifaananyi by'ente, nga byaweesebwa wamu nagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwetooloola ebweru w'omugo gwagwo, waaliwo embu bbiri ez'ebifaananyi by'ente, ebigwetooloolera ddala emikono amakumi asatu, nga byaweesebwa wamu nagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era wansi waayo waaliwo ekifaananyi ky'ente, ekigyetooloolera emikono kkumi, nga kigyetooloola ennyanja enjuyi zonna. Ente zaali embu bbiri, ezaasaanuusibwa yo bwe yasaanuusibwa.