2 Chronicles 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubiri gw'Ennyanja nga gwenkana obugazi bw'ekibatu; omugo gwayo nga guli ng'omugo gw'ekikopo, era nga guli ng'omugo gw'ekimuli ky'eddanga ekyanyizza. Yali egendamu bati z'amazzi enkumi ssatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obukwafu bwayo bwali nga luta, n’omugo gwayo ng’omugo gw’ekikopo, n’okufaanana ng’efaanana ng’ekimuli ky’amalanga. Yatekebwangamu lita emitwalo mukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubiri gwa Tanka gwali guweza oluta lumu. Omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, era nga gweyanjuluza ng'ekimuli kyamalanga. Etanka nga egendamu ensuwa za mazzi enkumi ssatu (3,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubiri gw'ogutanka ogunene gwali gwa luta lumu. Omugo gwagwo gwali gukoleddwa ng'ogw'ekibya, era nga gweyanjuluzza ng'ekimuli ky'amalanga. Ogutanka gwonna gwali gugyamu lita emitwalo nga mukaaga mu kakaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obugazi bwayo luta; n'omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, ng'ekimuli ky'amalanga: ensuwa enkumi ssatu ezaayingiramu ne zigyamu.