2 Chronicles 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakolayo ebinaabirwamu kkumi eby'okwolezaamu; ebitaano n'abissa ku ddyo n'ebitaano ku kkono, bye byali eby'okwolezangamu byonna ebyabanga eby'okuweereza mu kitambiro ekyokye; bakabona bo baali ba kunaabiranga mu Nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akolayo ne bensani kkumi ez’okwolezangamu, etaano n’azissa ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ettaano endala n’azissa ku luuyi olw’obukiikakkono. Omwo mwe mwanyumungulizibwanga ebintu ebyakozesebwanga mu kiseera eky’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, naye ng’Ennyanja ya bakabona okuginaabirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'akola ebbenseni kkumi (10) ez'okwolezaangamu: etaano n'aziteeka ku mukono ogwa ddyo ogwa Yeekaalu, n'etaano ku gwa kkono, ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye amazzi g'omu Tanka gaali ga bakabona ag'okunaaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'akola ebbenseni kkumi, ettaano n'aziteeka ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, n'ettaano ku lwa kkono. Zaali za kwolezaamu bintu ebikozesebwa ku bitambiro ebyokebwa. Amazzi mu gutanka ogunene ge gaali aga bakabona ag'okunaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'akola eby'okwolezaamu kkumi, n'ateeka ebitaano ku mukono ogwa ddyo, n'ebitaano ku gwa kkono, okubyolezangamu; ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye ennyanja yali ya bakabona okunaabirangamu.