2 Chronicles 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola emmeeza kkumi n'azissa mu Kiggwa, ettaano ku ddyo n'ettaano endala ku kkono. Era yakola ne ebibya eby'okumansira kikumi ebya zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola n’emmeeza kkumi, n’aziteeka mu yeekaalu, etaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’etaano endala ku luuyi olw’obukiikakkono. N’akola ne bbakuli ezikozesebwa okumansira kkumi nga za zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu Yeekaalu: etaano n'aziteeka ku luuyi olwa ddyo n'etaano endala ku lwa kkono. N'akola n'ebibya kikumi (100) bya zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'akola emmeeza kkumi, n'aziteeka mu Ssinzizo, ttaano ku ludda olwa ddyo, n'ettaano ku lwa kkono. N'akola n'ebibya kkumi ebya zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu yeekaalu, ku luuyi olwa ddyo ttaano, ne ku lwa kkono ttaano. N'akola ebibya kikumi bya zaabu.